Poliisi ebakanye ne kawefube w’okulaba nga empisa n’obukugu buddamu okwolesebwa mu baserikale.
Nga ayogerako eri bannamawulire olwaleero, amyuka ssabapoliisi w’eggwanga Fred Yiga ategezezza nga abaserikale abamu bwebefudde eb’ekitalo nga betwala okubeera abamanyi okusinga ekitongole kya poliisi kale nga kittatanye erinya lya poliisi.
Anyonyodde nti abamu ku bantu bamenyi b’amateeka abawedde emirimu era olwalmbala yunifoomu nebaweebwa obuyinza olwo nebatigomya abalala.
Agamba abantu nga bano bebagenda okusooka okutunulira mu kawefube omuggya.
