Ababaka 2 nabo baddukidde mu kkooti ejulirwamu nga bawakanya omulamuzi wa kkooti enkulu e Jinja Margret Mutonyi okusazamu obuwanguzi bwabwe.
Munna NRM Peter Mugema amanyiddwa enyo nga Panadol awakanya ensalawo y’omulamuzi n’okulangirira munna FDC Nasser Abedi Mudiobole ku buwanguzi bwa municipaali ye Jinja.
Mugema agamba omulamuzi yalemererwa okulaga obujulizi nti ddala yagaba enguzi kale nga ayagala kkooti ejulirwamu emuzze mu offiisi ye.
Ye owa Kiguklu North Bwino Fred Kyakulaga agamba omulamuzi Mutonyi yali mukyamu kukkanya ne gwebaavuganya naye Ismail Badogi nti empapula ezilangira omuwanguzi zatekebwako emikono nga kulonda tekunaggwa kale nga naye ayagala kkooti ejulirwamu emuddize obuwanguzi bwe.
Kati ababaka bano bagasse ku banaabwe 5 gyebuvuddeko abaddukira mu kkooti yeemu nga bawakanya okugobwa mu palamenti.