Amawulire

Aba DP banenyeza poliisi ku bantu abafiiridde ku Freedom City

Aba DP banenyeza poliisi ku bantu abafiiridde ku Freedom City

Ivan Ssenabulya

January 3rd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekiri kuludda oluvuganya gavumenti ekya Democratic Party kigugumbudde poliisi olw’okunenya abategesi b’ekivvulu ku freedom City omwafiiridde abantu mu kumalako omwaka.

Nga 31st December abantu 10 bebafudde ate abalala 12 nebalumizibwa wakati mu kavuvungano nga badduka okuva mu kizimbe badde ebweru basobole okulaba ebiriroliro bwebitulika mu kusibula omwaka 2022.

Okusinziira ku poliisi abafudde okusinga babadde baana, era waliwo obutakkaanya mu muwendo gw’abaafudde poliisi gwe yafulumiza nab’enganda z’abagenzi gwe bogera.

Olunaku lw’eggulo poliisi yakakasizza nti yakutte Abbey Musinguzi aka Abitex eyategese ekivvulu kino nga alangibwa okwolesa obulagajjavu ekyavirideko abantu bano okufa.

Wabula bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina kino mu Kampala, pulezidenti wa Uganda Young Democrats, Ismael Kirya, agambye nti poliisi y’evunaanyizibwa ku byonna ebyabaddewo kubanga yakkirizza ekivvulu kino nga tebakoze kwekenneenya bulabe obuyinza okutuuka ku badigize mu kutulisa ebiriroliro mu kifo kino.

Agambye nti DP esaasidde famire z’abagenzi, ng’esaba poliisi eyimbule Musinguzi kubanga tavunaanyizibwa ku byabaddewo n’akatono.