
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Winnie Kiiza aweze obutateeka muntu yenna ava mu kibiina kya UPC mu gavumenti ye eyekisiikirize esuubirwa okulangirirwa essaawa yonna okuva kati.
Kino kiddiridde ab’ekibiina kino ekilemberwa Jimmy Akena okwongera okwekwenyakwenya n’abekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM nga era bakyavumirira ekya munna UPC Betty Amongi nga era mukyala wa Akena okulondebwa ku bwa minisita.
Kati mu mboozi eyakafubo amakya galeero, Kiiza agamba tekikola makulu kulonda bantu bava mu kibiina abakukuta ne gavumenti gyebavuganya.