Amawulire
IGG atandise okunonyereza ku buwumbi 4 ezaweebwa KCCA mu Covid
Bya Prossy Kisakye,
Ekitongole kya Gavumenti ekilondoola emirimu ekya IGG kitandise okunoonyereza ku nsimbi ezigambibwa okukozesebwa obubi eziwera shs4bn ezaali ezokulwanyisa ekirwadde kya covid-19 ezaweebwa ekitongole ekiddukanya e kibuga kampala ekya Kampala Capital City Authority.
Kino kiddiridde Kansala mu lukiiko lwa KCCA owa Rubaga 111, James Mubiri, okusaba Kaliisoliiso wa Gavumenti Beti Kamya anonyereze kungeri ensimbi zino wbwezakwatibwamu mu kiseera ekyomuggalo ogwokubiri.
Bwabadde ayogerera mu ku mukolo ogwokugaba ambyulensi empya musanvu ezaguliddwa KCCA okutumbula empeereza y’ebyobulamu mu magombolola ga kampala 5 City, Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago abikudde ekyama nti IGG etandikiddise okunoonyereza okusobola okununula ssente ezabulankanyizibwa.
KCCA yasabye ensimbi ezoogeddwako okusobola okussa mu nkola enteekateeka ya gavumenti ey’okulwanyisa ekirwadde kya covid-19 okumalawo ssenyiga omukambwe mu Kampala.
Muno mwalimu okugema, okussa mu nkola emitendera gyokutangira ekirwadde, okugula ambyulensi, okuwa eby’okuddamu mu mbeera ey’amangu, nga kwaliko nokugula emotoka okutuuka buli wamu okwekebejja abasuubirwa okuba ne kirwadde kiyite mobile labalatory.