Bya Ruth Anderah.
Kooti ensukulumu olunaku olwaleero lw’ekomekerezza okuwulira omusango banamateeka bwebawakanyiriza ensala ya kooti ya ssemateeka eyatuula e Mbale ku ky’okuja ekomo ku myaka gy’omukulembze.
Guno omusango gubadde mu maaso g’abalamuzi musanvu aba kooti ensukulumu nga bakulirwa omulamuzi Bart Katureebe, era nga ono agambye nti akadde konna agenda kuyita bekikwatako abategeeze lwebanaawa ensala yaabwe mu musango guno
Bwabadde awumbawumba ensonga zono, ssabalamuzi agambye nti mumusango guno buli mulamuzi agenda kuwandiika alipootaye kale nga kino kiyinza okutwalira dala akadde.
Wabula ono agambye nti kooti eno egenda kufuba okulaba nga tesukka naku 60 ezirambikiddwa mu mateeka.