Amawulire
Ekanisa yábalokole endala ekkumiddwako omuliro e Iganga
Bya Abubaker Kirunda,
Waliwo abantu abatanategerekeka akateekede ekkanisa omuliro nesirikka mu disitulikiti eye Iganga mu kiro ekikeesezza leero.
Ekkanisa y’abalokole eno emanyiddwa nga Ebenezer Community Church esangibwa ku kyaalo Bulubandi- Nandekula mu gombomola y’e Nakigo.
Eno esangiddwa nga muyonga obudde webukeeredde wabula ng’ababadde amabega w’ekirwa kono tebannategerekeka.
Charles Wako nga musumba ku kanisa eno ategeezezza nga bwewaliwo abantu abamenye oluggi n’amadirisa g’ekkanisa eno nebayingira n’oluvanyuma nebagiteekera omuliro.
Wako agamba nti ekigendererwa ky’okugyokya tekinategekeka nti wabula tewali mugoberezi nomu yalumiziddwa
Diana Nandaula ayogerera Poliisi mu bitundu bya Busoga East agamba nti batandise okunoonyereza