Bya Ritah Kemigisa
Kerezia katulika, evuddeyo okwegaana ebigambibwa nti baliko yiika ze ttaka 4 nekitundu lyebakwakkula okutudde essomero lya Ntinda P/S.
Bwabadde ayogera ne banamwulire batuziizza ku parish ye Ntinda, vicar general owa Kampala Monsignor Charles Kasibante agambye nti kkereziya yayita mu makubo matuufu okufuna ettaka lino, lyebalinako lease okuva mu kakaiiko aka Uganda Land commission mu mwaka gwa 2015.
Agamba nti ekigendererwa kyabwe kyakukulakulanya ssomero lino, ate bwagire ne gavumenti mu byenjigiriza, nawakanya nebyogerwa nti bagenda kusanyawo essomero lino bazimbewo ssemaduuka galikwoleka.
Ategezezza nti baawaayo plan yaabwe mu kitongole kya KCCA nga 6th April okukaksibwa, wabula ekitaali kya mukisa nebajgoba.
Monsignor Kasibante wano era ayamblidde abamu ku bakulu mu KCCA olwokulemesa entekateeka yaabwe, eyokukulakulanya essomero.