Amawulire
Abasuubuzi basabye gavt okulongoosa obuweereza kunsalo e Malaba
Bya Tom Angulin
Abasuubuzi abasuubula eby’amaguzi emitala w’amayanja nga babiyisa ku mwala e Mombasa basabye gavumenti okulongoosa obuweereza ku nsalo eby’amaguzi webiyingilira e Malaba ne Busia okwewala okukeerewa kw’eby’amaguzi mu bifo ebyo.
Wetwogerera nga oluseregende lwa motoka lutuuka mu buwanvu bwa kilo miter nga 30 munda mu Kenya wabula ng’obuzinbu bisibuka ku kasoobo akali mu bekebejja ebiwandiiko ku nsalo.
Gilbert Otim nga kitunzi wa kampuni y’amafuta eya Stabex agamba nti wadde ng’ekizibu kino kigenda kitwala ebbanga, mpawo kanyego okuva mu gavumenti ku butya bwegenda okukinogera edaggala.
Amelia Kyambadde nga muwi w’amagezi eri President ku by’obusuubuzi, ategeezezza nga obuzimbu bwebuva ku nkola eya nasiwa mu kange gattako n’okubulankanya empapula ezoogera ku by’amaguzi nga banyinizo batuuse ku nsalo.
Wabula asuubizza nga bwagenda okubissaamu engatto atuukeko mu kifo ekyo n’oluvanyuma anavaayo ne alipoota ku butya ekizibu ekyo bwekisobola okumalibwawo.