Bya Samuel Ssebuliba.
Ekitongole ekikola ku by’amazzi ekya National water and sewage corporation kitegeezeza nga bwekiriko wekituuse mu kutuukiriza emirimo gyakyo, naddala mukutuusa amazzi amayonjo mu bantu, kko n’okuzimba emidumu gya kazambi.
Bino bigidde nga ekitongole kino kisuubira okubunya amazzi mu Uganda yonne mubanga lya myaka 2 gyoka okuva kakano.
Twogedeko naakulira ekitongole kino Eng. Silver Mugisha, naagamba nti wakati wa 2016 ne 2017 gatuuse mu bantu ebitundu 5.5%, gabunye mu bitundu 11%, songa abalina emidumu gya Sewage baweze ebitundu 2 % .
Ono agambye nti mu kaseera kano abantu abalina amazzi bakola ebitundu 83.7%,kale nga kino kakasa nti baliko webatuse