Amawulire
Aba DP basabye Gavt eyanguyirizeeko okuyisa ensengeka yébisale byámasomero
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kyébyóbufuzi ekya Democratic Party kisabye gavumenti okwanguyirwa okuyisa enkola y’okulungamya ku bisaale byámasomero kitaase abazadde ku musimbi omungi ogubagerekerwa.
Gavumenti yassaawo enkola y’okulungamya ebisale by’amasomero, eno ekyalowoozebwako olukiiko lwa baminisita oluvannyuma lw’okukaaba kw’abantu olw’ebisale by’amasomero ebipaarusibwa buli taamu.
Okusinziira ku nkola eno, amasomero galina okusasuza waakiri Shs260, 000 okutuuka ku kakadde 1.6 okusinziira kuwa amasomero gyegali, emisaala gy’abakozi, okuliisa abayizi n’okuddukanya emirimu, n’ebirala.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina kino mu Kampala, pulezidenti w’ekibiina kya Uganda Young Democrats, Ismael Kirya, agambye nti nga DP baasanyukidde enkola egendereddwamu okuwummuza abazadde ku bisale ebisusse naddala mu masomero g’obwannannyini.
Era asabye gavumenti okussa mu nkola enteekateeka eno mu bwangu abazadde basobole okufuna ku buwerero.