Amawulire

Abantu 71 beebafiiridde mu bubenje mu ssabiiti ewedde

Abantu 71 beebafiiridde mu bubenje mu ssabiiti ewedde

Ivan Ssenabulya

March 6th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Omugatte gw’abantu 71 bebafiiridde mu bubenje obuguddewo mu ssabiiti gyetukybye amabega okwetoloola eggwanga lyonna.

Abantu abalala 322 bebalumiziddwa mu bubenje obwo mu mugatte gwa bubenje 361.

Ku buno obubnje, 64 bwalifiiramu abantu  ate 181 bwali bwamaanyi ate 116 bwali butonotono.

Faridah Nampiima nga yayogerera Police y’ebidduka agamba nti ebifo ebisinze okugwamu obubenje sabiiti eyo kuliko ebendobendo lya Kampala ely’obuvanjuba, amambuka ne Wamala regions.

Ono kati ayagala abakozesa amakubo okwongera okubeera abegendereza.

Mu ngeri yemu ayogedde ne ku bika by’abantu abalala abakwatiddwa mu bumenyi bw’amateeka ku makubo mu sabiiti gyetubye amabega.