Bya Shamim
Omwezi mulamba gweguweredwa akakiiko akatekebwawo omukulembeze we gwanga okwekenenye ebintu byonna Buganda byebanja gavumenti eya wakati okubibaddizza oba nokuliyirira obwakabaka.
Kino kiddiridde ensisinkano ebabdde erina okubawo olwaleero wabula abakulu nga bakulembedwamu ssabawolerezza wa gavumenti okuddamu okusaba obudde betegerezze nga bayiita mu bakuggu okwekenenya emiwendo gyebintu ebimu Buganda byebanja.
Essira lisimbidwa ku nyumba yobwakaba eri e Bungerezza, plot eri ku lugundo lwa Kampal road nebirala.
Okusinziira ku mwogezi wobwakabaka bwa Buganda, Buganda yetegese okuguminkirizza ebbanga lino eribasabidwa kubanga ensonga zino zamakulu nnyo.
Omukulembezze we gwanga yatekaawo olukiiko olwenjawulo nga 27 omwezi ogwo 2 oluvanyuma lwokusinsinkana abakulu mu bwakabaka bwa Buganda okuteesa nokulaba nga byonna ebyatekebwako omukono mu ndagaana wakati wakabaka nomukulembeze omwaka gwa 2013, nga bitukirira.