Skip to content Skip to footer

Akakiiko ketaaga obukadde 850 mu kulonda kwe Rukungiri

Bya Ritaha Kemigisa

Akakiiko kebyokulonda kakusasanya obukadde 850 mu kulonda okwokuddibwamu, okwomubaka omukyala owa district ye Rukunguri okusubirwa nga 31st May.

Kino kibikuddwa akulira ebyemirimu mu kakaiiko, Leonard Mwekwah bwabadde ayogera ne banwmulire.

Mwekwah ategezeza nti bafunye ezimu ku nsimbi zino, wabulanga talaze miwendo mmeka zebakafunako.

Wano omumyuka wa ssentebbe wakaiiko kebyokulonda Aisha Lubega alabudde bonna abatekateeka okwesimbawo obutagezaako kumenya mateeka, kubanga tebajja kuguminkiriza bikolwa ebye ffujjo.

Ekiffo kyomubaka omukyala mu palamenti owe, kyasigala nga kikalu oluvanyuma lwa munna NRM Winfred Matsiko, kooti okusazaamu obuwanguzi bwe.

Leave a comment

0.0/5