Ebyobulamu
Ebigenge bikwata abawera
Wadde nga waliwo eddagala ,abantu 400 beebakwatibwa ekirwadde ky’ebigenge buli mwaka mu Uganda
Ku bano, ebitundu 10% baana bato abali wakati w’emyka 8 – 15.
Omukungu okuva mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Frank Mugabe agambye nti abaana bato obulwadde buno babujja ku bantu abakulu, abalagajalira okunywa eddagala.
Dr Mugabe agambye nti ekirwadde kino kisinga kwegirisiza mu district omuli Kampala, Gulu, Pader,Yumbe, Arua, Koboko nendala.