Amawulire

Gavt yetaaga akawumbi 1.3 okudabiriza ekitebe ekye Somalia

Gavt yetaaga akawumbi 1.3 okudabiriza ekitebe ekye Somalia

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minisitule ey’ensonga ez’ebweru w’eggwanga eri ku muyiggo gwa kawumbi kalamba n’obukadde 300 okuvujjilira ebitebe bya Uganda e Mogadishu ne Somalia wamu n’okudaabiriza enyumba ya Uganda esangibwa mu kibuga New York.

Ensimbi zino Ministry eyagala ziyisibwe mu mbalirira eyenyongereza gyebatutte eri akakiiko ka Parliament akakola ku by’embalirira.

Minisitule egamba nti ekitebe kya Uganda n’okusingira ddala ekiri e Mogadishu kikoleddwako obulumbaganyi emilundi mingi abatujju ba alshabab nga kyetaagisa okuddabirizibwa okujjayo obulungi ekifaananyi kya Uganda mu gwanga elyo.

Wabula ababaka ku kakiiko k’embalirira baategeezezza nga bwebajja okusooka okwetegereza ebyogerebwa nti waliwo engeri y’obutali butebenkevu gyebukosezzaamu e kitebe kye e Mogadishu n’oluvanyuma baveeyo n’ekisembayo ku nsonga y’embalirira eyogerwako.