Amawulire
Omubaka Ssegirinya aweereddwa ekibaluwa ekimuyita mu Kkooti
Bya Ruth Anderah,
Kkooti y’okuluguudo Buganda eyisizza ekibaluwa ki bakuntumye eri omubaka wa Kawempe North mu Parliament Muhamad Ssegirinya wamu n’abamweyimilira awozesebwe ku misango egy’okukuma mu bantu omuliro egimuvaanibwa.
Bano Kkooti ebeetaaga 23/04/2023 oluvanyuma lwa Segirinya obutalabikako olwaleeo awatali kuwa nsonga yonna.
Abamweyimilira kuliko Thomas Bagonza ne Apollo Ariho bombi nga bakansala ku gombolola e Kawempe.
Oluuyi oluwaabi nga lukulembeddwa Ivan Kyazze lwelutaddemu okusaba eri Kkooti n’abamweyimilira bakwatibwe oluvanyuma lwa bano obutalabikako omulundi ogw’okubiri ogw’omuddiringanwa.
Olunaku lwa leero, ne munnamateeka wa Segirinya Medard Lubega Segona, naye talabiseeko okujjako omujulizi w’oludda oluwaabi nga musirikale Ocen Bosco Olukuwonde okuva mu district eye Gulu.
Wano omulamuzi Siena Owomugisha wasinzidde nayisa ekibaluwa kibakuntumye.
Kigambibwa nti mu mweezi gw’omunaana n’ogwomwenda mu 2020, bweyali e Kampala, Ssegirinya yateeka ebigambo eby’obusagwa ku mukutu gwe ogwa mugatta bantu nga guliko engeri gyegukuma mu bantu omuliro okwenyigira mu bikorwa eby’ekitta bantu.