Bya Ritah Kemigisa.
Ekibiina ekya Democratic party kitegeezeza nga bwekyesonyiwa ebyokwetaba mu nteseganya ez’egwanga lyona kiyite National dialogue ezibadde zisubirwa okubaawo mu November.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire, President w’ekibiina kino Norbert Mao agambye nti nga ekibiina sibamatiivu n’entegeka yenteseganya zino, kale kwekusalawo okuzaamuka nga bukyali.
Mao agamba nti ebigenda mu maaso gamba nga okuliisa abantu akakanya, okukwata abantu mu bukambwe nga ebyagwa ku Yusuf Kawooya bibamazeemu amaanyi, kale nga tebalaba mugaso gwakwogera na government.