Bya Sadat Mbogo
Abasajja babiri battiddwa mu kiro ekikeesezza olwaleero ku kyalo Kawuula okumpi n’eddundiro ly’omukulembeze w’eggwanga e Kisozi mu district ey’e Gomba.
Abatiddwa basaliddwasaliddwa nga kuliko Steven Kasibante ne munne ategeerekeseeko erya Kaliisa nga bombi babadde balimi mu kitundu.
Ssentebe wa LC2 e Kisozi Yazid Male ne ssentebe wa LC1 e Kawuula Muhammad Sserwadda obuzibu babutadde ku kyabutabeera na police e Kisozi kyokka nga ebirina okukuumibwa bingi n’abantu abeeyongedde ennyo abatamanyiddwa.
Addumira police mu district ey’e Gomba Robert Kuzara atuuse awagudde ekikangabwa kino, emirambo nejigyibwawo nejitwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Gombe e Butambala wabula nga embwa ya police ekonga olusu eremereddwa okubaako kyezuula.