Skip to content Skip to footer

Awawabidde gavumenti olw’okumulumiriza nti yaganza bba wa minista

Bya Ruth Anderah

Omukazi owemyaka 39 awalabanyizza Ssabawoererza wa gavumenti okumutwala mu kooti enkulu, mu Kampala ngagamba nti yakwatibwa mu bukyamu nebamuggalira okumala emyezi 3 ate oluvanyuma nebamuyimbula awataali kumuggulako musango gwonna.

Tabisa Edisa Nakaziba agamba nti nga October 12th 2017 bweyali mu maka ge e Lugazi abasirikale 3 babuuka okuva mu kamotoka kika kya saloon nebasiba akakokolo nebamutwala gyatategeera.

Agamba nti ngali mu mmotoka btandika okumukuba nga bamubuuza, lwaki aganza omwami wa minister omubeezi owebye ttaka Percis Namuganza.

Agamba bamuggalira okumala ebbanga nga bwebamutulugunya okwali nokumukuba ensambaggere, nga bamunenya okuzaala omwana ne bba wa minista.

Okusinziira ku mpaaba ye, mu May 2018 yawayabira ssbapoliisi we gwanga aliko kati ku kitebbe kyaba mbega e Kibuli, naye tebamukiriza kukola statementi.

Kati yayise mu munamateeka we aba Ladsilous Rwakafuzi, okugenda mu kooti, naye kooti tenalaga ddi omusango lwegugenda okutandika okwulirrwa.

Leave a comment

0.0/5