Omujulizi wa gavumenti ku musango oguvunanibwa eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye abivuddemu.
Donatus Eguma ategezezza nga bwewaliwo abakungu ba gavumenti abamutiisatiisa okulumiriza Besigye ne banne.
Dr Besigye avunanibwa ne loodi meeya wa Kampala Elias Lukwago, meya wa Kawempe Mubarak Munyagwa , akulira abakyala mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe n’abalala nga bavunanibwa kukuma muliro mu bantu e Kable mu 2012 nebakuba abapoliisi 4 amayinja wamu n’okwonona emmotoka za poliisi 4.
Eguma ategezezza bannamawulire olwaleero nga bw’asazeewo okuva mu musango guno olw’okutya obulamu bwe okutuusibwako omutawaana gwonna.
Wabula ye omuwaabi wa gavumenti Batson Baguma ategezezza nga bwali omwetegefu okugenda mu maaso n’omusango guno era wakukozesa abajulizi abalala.
Wabula ye munnamateeka w’abawawabirwa Jonathan Bwagi asabyeyo akadde akalala okwongera okwekenenye omusango guno oluvanyuma lw’eyabadde abawolereza Wilfred Murumba okufa.
Omulamuzi wa kkooti ye Kable omusango agwongeddeyo okutuusa nga 17 June 2015.