Poliisi e Ssembabule eriko abantu 15 bekutte okuli n’omukuumi ku by’okunuuna amafuta okuva mu bimotoka ebiri mu kuzimba oluguudo oluva e Kanoni okudda e Sembabule.
Abakwate bano abatanategerekeka kuliko abavuzi ba biloole nga abalala bakozi ba kampuni y’abachina enzimbi y’oluguudo eyaweebwa omulimu gw’okuzimba oluguudo luno.
Noah Sserunjogi nga ono y’ayogerera poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga ategezezza nga poliisi bw’esobodde okuzuula agamu ku mafuta agabibwa abantu bano.
Agamba kizuliddwa nga badereeza bano bwebabadde bekobaana b’abakuumi nebanuuna amafuta okuva mu bimotoka nga bakama baabwe bagenze okulya ekyemisana.
Wabula abamu ku bakozi abataagadde kwatukiriza manya gaabwe bategezezza nga banaabwe bwebabadde beyiiya nga enjogera y’ennaku zino olw’obussente obutono obubasasulwa nga ate balwawo okubufuna.