Bya Andrew Baagala.
Amawulire ag’enaku getwakafuna galaga omukyala Susan Magara ayawambibwa okuva wano e Lungujja mu Lubaga Division bw’asangiddwa nga attidwa omulambobgwe n’egusulibwa e kajjansi lu luguudo olwa Southern by pass.
Twogedeko n’ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire naakakasa nga omulambo gwa Magara bwegusangiddwa nga gusuliddwa ku Southern Bypass wabula nga kaakano police etuuse mu kitundu kino okwetegereza ebisingawo.
Gyabuvudeko daily monitor yayogerako ne Rebecca Nantogo mukwano gw’omugenzi n’agamba nti eby’okwesigama ku police mu kunonyereza bakuvudeko , kati basazeewo kwesigama ku katonda .