Bya samuel Ssebuliba.
Police ya uganda etegeezeza nga bwetadde kubbali ensimbi akawumbi kalamba nga zino zezigenda okukozesebwa mukubunya, ko n’okunyikizza enkola eya police n’omuntu waabulijjo okutuukira dala ku mutendera ogw’amagombolola.
Ssabapolice we gwanga Gen Kale Kaihura agamba nti enkola eno egenda kusooka kugasa ebitundu bisatu ebiri ku mutendera gwa region wano mu kampala, ko ne region endala 5 mu bitundu bye gwanga eby’enjawulo, nga gano g’emagombolola nga 273 mu gwanga lyonna.
Ono ategeezeza nti okusinga bagenda kuteka nyo amaanyi ku ngabana y’amawulire, okukola ku by’entambula ya baserikale, ko nebirara.