Bya Shamim Nateebwa
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akutiide abalimi okwetegekera okusimba ebirime.
Katikkiro ali mu ssaza lya Buddu okulambula abalimi b’emwanyi abaganyuddwa mu nteekateeka y’obwakabaka ey’okugabira abantu ba Beene emwanyi.
Katikkiro alambudde ennimiro z’essaza okulimibwa ensuku, emmwanyi, obutunda nebintu ebiralala.
Abalimi bakubiriziddwa okuba obulindaala n’ensigo ze bagenda okusimba sizoni eno kuba egenda kutandika mu March, ne balabulwa enkuba etonnya kati obutabayinula kutandika kusimba.