Bya Samuel ssebuliba.
E Mbale ewali omusango ogw’okujja ekomo ku myaka gy’omukulemebeze we gwanga, munamateeka wa government mumusango guno Mwesigwa Rukutana akaladde n’agamba nti buli kyakyusibwa mu ssemateeka tekirina bwekyataataganya ssemateeka wa gwanga, kale nga kyebaakola kiri mu mateeka.
Ono afunvubidde n’agamba nti okukyusa mu ssemateeka buvunanyizibwa bwa parliament nga bulijjo, kale nga kuluno baali banywevu ebitagambika kubanga baalina obuwagizi bw’abantu benyini abalonda ababala bano.
ono agambye nti baatwala akadde okwetegereza buli teeka, kale nga tewali kyebaakola munsobi oba mukupapa.
Mukaseera kano omusango gugenda mu maaso era nga leero oludda lwa government lwelutandise okwewozaako.
