Skip to content Skip to footer

Alipoota ku baana b’okunguudo efulumye.

Bya Ritah Kemigisa.

Alipoota ku baana abali ku nguudo eraze nga  abaana bano  bwebaliisibwa akakanja, songa waliwo n’ababasobyako mukiro.

Kuno  okunonyereza kwakoleddwa ekibiina ekya  Centre for the Study of African Child wakati mukujukira emitawaana abaana bano gyebayitamu nga bakulira ku nguudo.

Twogedeko n’akulira ekibiina kino Joyce Wanican, nagamba nti baakizudde nti abaana bano nga bali ku nguudo eyo bakubwa ebitagambika, bokebwa, police ebayigga buli kaseera, songa waliwo nababasoberere nebabasobyako ate nga tebalina wakuwaaba

Ono agamba nti newankubadde waliwo ababayita ababbi, naye ate waliwo abanyazi ababalumba nebabawuttula nga amakulu kubabbako nsimbi zebasiibye nga basabiriza ku nguudo.

Alipoota eno  yakolebwa  mu mwaka gwa 2016 mu bitundu nga  Kisenyi, Katwe, Kibuye, Makindye, Salama, Kabalagala, Nsambya, Kyengera, Bakuli and Makerere-Kivulu newalala.

Leave a comment

0.0/5