Amawulire
Mao asabye abasiramu okusaba wabeewo okukyusa gavumenti mu mirembe
Bya Prossy Kisakye,
Minisita w’ebyamateeka nóbwenkanya era nga ye mukulembeze w’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party, Nobert Mao asabye Abasiraamu okwetoloola eggwanga okukozesa omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan okusaba wabeewo okukyusa obukulembeze mu mirembe mu ggwanga.
Bino yabyogedde akawungeezi akayise mu kijjulo kya Futari ekyategekeddwa ekibiina kya Democratic Party ku ofiisi zaabwe enkulu ku luguudo lwa Balintuma mu divizoni y’e Rubaga eri Abasiraamu abasiiba.
Moa agamba nti omwezi guno gwa njawulo nnyo eri Abasiraamu era okusaba kwabwe kwonna kugenda butereevu eri Katonda kale kikulu okusabira eggwanga okutebenkera n’okukyusa obuyinza mu mirembe okulindiriddwa okumala ebbanga.
Mungeri y’emu yabasabye bakozese ofiisi ye ey’obwenkanya ne Ssemateeka okunoonya obwenkanya eri Basiraamu bannaabwe abali mu makomera mu kiseera kino olw’ebyobufuzi n’abo abaagobwa ku ttaka lyabwe.