Skip to content Skip to footer

Abakulembeze begasse okuyamba abavubuka

Bya Ivan Ssenabulya

Abakulembeze bamawanga, bavuddeyo ne kawefube okutekawo obwenkanya mu byenjigiriza eri abavubuka nokubbangula.

Bano bakutongoza enkola eno wiiki ejja, mu lutuula lwekibiina kyamawanga amagatte olwomulundi ogwe 73, nga balubiridde nti omwaka 2030, nga buli muvubuka muyigirize.

Olutuula luno lugenda kubaawo ku Mande nga 24 September at ku kitebbe kya UN mu kibuga New York mu gwanga lya America.

Okusionziira ku kiwandiiko kivudde ewomwogezi wa UNICEF  mu Uganda Catherine Ntabadde, abamu ku bakulembeze abetabye mu kawefube ono kuliko Ssabawandiisi wa UN António Guterres, President wa Rwanda Paul Kagame, presidenti wa World Bank Group Jim Yong Kim nabalala.

Kati emisinde egye yiriyiri emiwendo gyabavubuka kwebeyongerera, abakugu balagula nti gyakweyongera okutuuka ku buwumbi 2 omwaka 2030 wegunatukira, wabula nomulanga nti betaaga okubawa obukugu obutafuuka ekizibu eri ensi.

Leave a comment

0.0/5