Bya Ruth Anderah
Omumyuka wa ssabalamuzinwe gwanga, omulamuzi Alfonse Owiny-Dollo ayogedde ku eyali Ssabalamuzi we gwanga, omugenzi Bendicto Kiwanuka ngeyali omusajja owe nonno ze, ateyagaliza, atatya ate nobutalya mu bigambo bye, nga byonna alafubanira nfuga yamateeka.
Ono abadde ayogerera mu musomo ogwokujjukira omugenzi eyali Ssabalamuzi we gwanga eyasooka ku kooti enkulu mu nga gwetabiddwako nomumyuka womukulembeze we gwnaga Edward Kiwanuka Ssekandi.
Omulamuzi Dollo agambye nti Ben Kiwanuka ngesiga eddamuzi, bakusigala nga bamuwa ekitiibwa nokumutwalnga ekyokulabirako.
Bendicto Kiwanuka ebyafaayo biraga nti nga September 21st 1972 abajaasi bomugenzi Iddi Amin bamusikambula okuva mu wofiisi ku kooti enkulu, nebamutwala okutuusa kati tamanyikiddwako mafiire.
Omusomo guno gwetabiddwamu abantu babulijjo, banamateeka nabalamuzi.
Eyaddira Beni Kiwanuka mu bigere Samwel Wako Wambuzi, ye mwogezi omukulu.