Bya samuel ssebuliba.
Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku nsasanya y’ensimbi zomuwi womusolo aka Public Accounts committee, katabukidde abakola oluguudo lw’egali y’omukka luno gagadde, nga bagamba nti bano baludewo okuliyirira abantu abalina okusengulwa,nga luno lukandariridde emyaka 2 okusinziira kubudde obutegeke.
Akakiiko kano akakulirwa omukyala Angelina Osege kakunyizza abakulu bano nga bakulembedwamu omuwandiisi ow’enkalakalira Bageya Waiswa.
Alipoota y’omubalirizi w’ebitabo bya government ey’omwaka 2015/16 yalaga nga abantu be Tororo,Butaleja,Namutumba ,Luuka ,Iganga abawerere dala 3481 abaali balina bwebatafunanga nsimbi zaabwe era nga 2023 bokka bebakaliyirirwa.
Ono agamba nti ebirumira bino bigenda kuzza emabage kaweefube w’okugatta amawanga okuli Uganda ne Kenya, kubanga bbo banaffe abe Kenya bamaladda okukola oluguudo olwabwe.
Wabula ye adukanya project eno Miriam Tumukunde agambye nti omutawaana guvudde ku nsimbi entono ministry ekola ku by’ensimbi zebawa
Ono agamba nti Ministry ekola ku b’ensimbi yalina okuweebwa obuwumbi 538 okukola ku nsonga eno , kyoka bakabawaako obuwumbi 50.8 zokka