Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Namayingo eriko omusajja gwekutte, oluvanyuma lwokulumako mwanyina omumwa, negugwa wali ngabadde amulumiriza okuwaganyaza mukyala we nokwagala aokumunobya.
Omukate ategerekeseeko lya Masaba nga mutuuze ku kyalo Bubango mu gombolola ye Buswalleh e Namayingo.
Ono yakutte mwanayini abadde azze awaka aokubatabaganya bwebasowaganayemu, namulumako omumwa kati ali mu ddwaliro.
Hellen Nekesa kati ali mu ddwaliro afuna bujnajabi.
Omudumizi wa poliisi mu district ye Namayingo Geoffrey Egwanga, agambye nti ono bagenda kumugulako omusango, gwokulumya omuntu.