Bya Abubaker Kirunda
Omusajja wa myaka 35 yejje mu bulamu oluvanyuma lwokutya nti mukyala we abadde afudde.
Omugenzi ye Wilson Dizaala ngabadde mutuuze ku kyalo Makoka mu gombolola ye Namwendwa mu district ye Kamuli.
Omu ku batuuze nga ye Steven Nadiope agambye nti omugenzi yasoose kukuba mukyala we Perusi Dhizaala, oluvanyuma lwokufunamu obutakanya, nazirika ngabadde asigaddeko kikuba ku mukono.
Poliisi ezze nejjawo omulambo negutwalibwa mu gwanika okwongera okwekebejjebwa, atenga omukyala ye addusiddwa mu ddwaliro okujanjabibwa.
Ono akozesezza butwa ye kenyini bweyerungidde.