Bya samuel ssebuliba.
Wano e Kenya agavaayo galaga nga abantu 112 bwebafudde amataba, songa abasoba mu 260,000 basenguse okuva mu maka gaabwe.
Ekitongole kya Kenya ekikola ku ntebereza yobudde kiraze nga embeera eno bwegenda okwongera okubijja, nadala ku mbalama z’enyanja Nalubaale ekitundu kye Rift Valley, amasekati ga Kenya n’ewalala.
Bbo abaduukirize ob’omusalaba omumyufu bagamba nti amasaza eg’egwanga lino 32 gegasinze okukosezebwa amataba gano.
Bino webigidde nga newano mu uganda e kitongole ekya Redcross kyakalabula abantu okwamuka omugga Manafwa olwenkuba egenda okubasengula.