Amawulire
UNEB etabukidde amasomero agasolooza ku bazadde sente ezisukkiridde okutuula ebigezo.
Bya Damali Mukhaye. Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu gwanga ki UNEB, kitegeezezza nga bwekitaddewo engassi ya bukadde bw’ensimbi 40 obugenda okuwesebwa amasomero gonna ng’engassi, aganasangibwa nga gasolooza ku bazadde ensimbi ezisukkiridde ku ezo ezagerekeddwa eri abayizi abagenda okutuula ebigezo by’eggwanga ku mitendera egy’enjawulo.
Ng’ayogerako eri ab’amawulire ku Media Centre mu Kampala, akola nga akulira UNEB Mike Nagosya Masikye ategeezezza nga etteeka lya UNEB akawayiro 33 bwelikangavvula essomero lyonna elyetonderawo ebisale ebyawukana ku ebyo ebibeera bitereddwawo akakiiko.
Agamba nti etteeka lyelimu era lisiba nyini ssomero emyaka 10 mu komera oba okumuweesa ebibonerezo byombi.
Ayongedde okutegeeza nga UNEB era etteeka bweligiwa obuyinza okukaka omukulu w’essomero okuzza sente zonna ezisukka mu ezo z’obeera oggye ku muyizi nga kwetadde n’okusazaamu ekifo wotuuliza ng’essomero.
Ebisale ebilangiliddwa tebikyuse okuva kubyasasulibwa abayizi ab’omwaka oguwedde nga omuyizi wa primary okutuula ebigezo by’ekibiina eky’omusanvu omuzadde wakumusasulira 34000 zokka.
Owa s4 wakusasula 164000 ate owa siniya ey’omukaaga asasule 186000.