
Okunonyereza ku musango gwa minisita atalina mulimu gwankalakalira Abraham Byandala ku luguudo lw’e Katosi tekunaggwa.
Kkooti ewozesa abakenuzi ewadde kaliisoliiso wa gavumenti omwezi omulala gumu gwokka okumaliriza okunonyereza kuno ne banne abalala bataano abaali abakozi mu kitongole ky’ebyenguudo.
Emisango egyagulwa ku bano kuliko okukozesa bubi ofiisi zaabwe ssaako n’okufiriza gavumenti ensimbi eziwerako nga kyava ku Byandala kuwa kampuni enzimbi eya Eutaw olukusa lw’okuddabiriza oluguudo oluva e Kyetume okudda e Katosi okwetobekamu emivuyo.
Byandala era avunanibwa n’okujemera ebiragiro bya kaliisoliiso wa gavumenti okuyimiriza eby’okuzimba oluguudo luno.
Amakya galeero Kaliisoliiso wa gavumenti asabye kooti akadde akalala okwongera okunonyereza ku mivuyo gino.