File Photo: Minister we bye mirimu ne nguudo
Okunonyereza ku musango gwa minisita atalina mulimu gwankalakalira Abraham Byandala ku luguudo lw’e Katosi tekunaggwa.
Kkooti ewozesa abakenuzi ewadde kaliisoliiso wa gavumenti omwezi omulala gumu gwokka okumaliriza okunonyereza kuno ne banne abalala bataano abaali abakozi mu kitongole ky’ebyenguudo.
Emisango egyagulwa ku bano kuliko okukozesa bubi ofiisi zaabwe ssaako n’okufiriza gavumenti…
