
Abaagala okwesimbawo ku tikiti y’ekibiina kya NRM batandise okuzzayo foomu z’okwesimbawo mu kamyufu wali ku kitebe ky’ekibiina e Kyadondo.
Abamu ku bazizzaayo empapula z’okwesimbawo kuliko amyuka ssabaminisita w’eggwanga owokubiri Moses Ali, minisita omubeezi ow’ebyensimbi nebamusiga nsimbi Gabriel Ajedra ssaako n’ayagala obwassentebe bw’ekibiina kya NRM mu bugwanjuba bw’eggwanga Odrek Rwabwogo nga ono mukoddomi wa pulezidenti Museveni.
Wabula wabaddewo okuwanyisiganya ebigambo wakati wa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Dr Tanga Odoi ne Gen. Moses Ali akozesezza emmotoka ya gavumenti okuzzayo foomu zino sso nga akakiiko k’ebyokulonda kino kakigaana.
Wabula oluvanyuma Moses Ali akkiriziddwa okuwayo empapula ze olwobukosefu.
Mungeri yeemu Rwabwogo ategezezza nga bw’ayagala okuleeta ebirowoozo ebipya mu kibiina okukikulakulanya.