Amawulire
Aba NEED basabye Pulezidenti okuteeka omukono kutteeka lyébisiyaga
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kye byobufuzi ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED, kisabye pulezidenti Museveni okussa omukono ku bbago ly’etteeka erirwanyisa ebisiyaga lifuuke etteeka mu bbanga eritali ly’ewala okusobola okutaasa eggwanga.
Kino kiddiridde pulezidenti okusalawo okuzza ebbago lino mu palamenti okwongera okwekenneenyezebwa.
Yagambye nti yawabuddwa Ssaabawolereza wa Gavumenti nti ebbago lino mu ngeri gye lirimu kati likangavula ababadde balya ebisiyaga ababa basazeewo okuleka omuzze guno ne bavaayo mu lujjudde okusaba okusaasirwa nókuyambibwa okutereera.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina e Rubaga, omwogezi w’Ekibiina, Moses Matovu, agambye nti okusindika ebbago lino okudda mu palamenti okwongera okwekenneenya si kibi naye kikolebwe mu bwangu, etteeka lino liteekebwako omukono okutaasa omulembe ogujja.
Asabye omukulembeze w’eggwanga okuguma n’obutatya bazungu olwobuyambi bwe babadde batuwa nategeeza nti Uganda erina eby’obugagga n’obusobozi okwekolera ku bizibu byayo singa obuli bw’enguzi bulwanyisibwa eby’obugagga byeggwanga ne bikozesebwa mu ngeri entuufu.