Amawulire

Gavumenti esabiddwa okudukirira abakosebwa omuyaga

Gavumenti esabiddwa okudukirira abakosebwa omuyaga

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu ne Prossy Kisakye,

Abakulembeze bómu Kampala basabye gavumenti eveeyo mu bwangu okutaasa abantu amaka gaabwe n’ebintu byabwe ebyayononebbwa omuyaga ogwagidde mu nkuba eyafuddembye mu kiro ekikeesezza olwaleero, akawungeezi akayise.

Bwabadde ayogerako eri ababaka akawungeezi ka leero mu palamenti, omubaka wa Rubaga North Abubakar Kalwaya, ategeezezza nti amayumba agasoba mu 500 galekeddwa nga tegaliiko busolya mu kitundu kye.

Kunsonga yemu ne Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago alambuddeko essomero lya Kawempe Muslim Primary School okwekenneenya obuvune bweryafunye oluvanyuma lwenkuba eno

Lukwago asabye gavumenti okwongera ensimbi ezigenda mu mbalirira y’enkulaakulana y’ebyenjigiriza mu kibuga, okuva ebizimbe by’amasomero ebisinga obungi mu Kibuga bwe bifuuse eby’omutawaana olwobutabaawo nsimbi ez’okubiddaabiriza.

Mu kwanukula Ssaabaminisita Robinah Nabbanja abikudde ekyama nti olukiiko olwayitiddwa mu ofiisi ye kunsonga eno lwasazeewo okusooka okukola okunonyereza balabe obunene bwe mbeera ne ki ekiyinza okukolebwa.