Ssalongo Erias Lukwago azzeemu okulondebwa nga loodimeeya wa Kampala.
Ono afunye obululu 176,637 okuwangula munna NRM Daniel Kazibwe Ragga Dee n’obululu obuweza 127,271.
Ragga Dee afunye obululu 49,366.
Ate munna DP Issa Kikungwe afunye obululu 7,759.
Obululu obuwerera ddala 2,591 bwebabadde nampawengwa ate nga 461 bwonoonese.
Bino birangiriddwa akulira ebyokulonda mu Kampala Charles Ntege.
Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okulangirirwa ku buwanguzi, Lukwago asuubizza okutandikira ku kusaba alipoota ku nsasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo mu myaka etaano egiyise.
Lukwago era asabye pulezidenti Museveni okussa ekitiibwa mu bisaliddwaawo bannakampala akolagane n’abalondeddwa ku bukulembeze abaggya.