Amawulire

Court Enkulu e Mukono efunye ekizimbe kya offiisi ekipya

Court Enkulu e Mukono efunye ekizimbe kya offiisi ekipya

Ivan Ssenabulya

May 11th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Essiga eddamuzi leero lwelitongoza amaka amatongole aga Court Enkulu mu bitundu eby’e Mukono era nga Ssaabalamuzi wa Uganda Aliphose Owiny Dollo yasuubirwa okukola omukolo ogwo.

Court e Mukono ebadde ekolera mu bupangisa era ng’etuulako abamuzi 3 okuli David Matovu nga Omulamuzi omukulu owa Kooti eyo,  Omulamuzi Florence Nakachwa, n’omulamuzi Christine Kahwa.

Bano balina abakozi 29 wabula nga babadde bakolera mu kifo kifunda.

Okusinziira ku mwogezi w’essiga eddamuzi Jameson Kalemani, Kooti eno ekola ku buli kika kya musango okuva mu district ez’etoloodewo.

Ekimu ku bizibu ebinga okusanga essiga eddamuzi z’embuga zaayo obutabeera na bifo bimala nga kiviiriddeko bangi okukolera mu bifo ebifunda okusobola okutuusa obuweereza eri abantu okwetoloola ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo.