Skip to content Skip to footer

Mutaase banaffe abavundira mu makomera-Bakansala

Bya Damali mukyaye

Bakansala ba KCCA bakedde kugumba ku bizimbe bya palamenti nga bawakanya ekya bannayuganda ababonabonera mu Mawaga gabawarabu.

Bano nga bakulembeddwamu Kansala we Kaeempe Muhammad Ssegirinya bazze n’emifaliso okwewabaka ku palamenti okulaga obutali bumativu.

Abakulembeze bano balumiriza palamenti okutunula obutunuzi awatali kikolebwa nga bannayuganda baisibwa nga ekyokuttale mu maanga gano sso nga n’abandi bavundira mu makomera geeyo.

Wabula poliisi bano tebalinze kugenda mu maaso na nateekateka zaabwe nebayoola wakati mu kusaakanya okuva eri abalabi.

Bano babakutte mavumbavumba okubakasuka ku kabangali okwewala efujjo lyonna.

Bino webijidde nga gavumenti kyejje esazeemu ekkoligo lyeyali etadde ku bannayuganda abagenda mu mawanga g’abawarabu okukolerayo.

 

Leave a comment

0.0/5