Skip to content Skip to footer

Emisolo gisaliddwako mu mbalirira empya

Bya Ibrahim A Manzil

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri  Kaguta Museveni nga ayita mu minisita omubeezi ow’ebyensimbi  David Bahati ayanjizza eri palamenti embalirira yabutabalika (Twillion) 28 ey’omwaka gw’ebyensimbi 2017/2018.

Ensimbi ebitundu 75.4  zakukunganyizibwa  mu misolo gyakuno.

Bahati ategezezza palamenti nti gavumenti esuubira enkulakulana eri wakati w’ebitundu 6-7% oluvanyuma lwa gavumenti okukendeeza ku bbeeyi y’amassanyalaze eri abagakozesa.

Minisita w’ebyensimbi  Matia Kasaija agamba teri kwongeza misolo wabula gavumenti yakutabukira abatayagala kusasula musolo bonna.

Kasaija agamba gavumenti yakwongera okwewola munda mu ggwanga nga era ekitongole ekiwooza kyakuweebwa buli kyetagisa okukwata bonna abebalama emisolo.

Leave a comment

0.0/5