Bya Shamim Nateebwa
Pollisi egalidde omuvubuka agambibwa okulimbalimba akawala k’essomero n’akasobyako.
Sharif Ssuuna owemyaka 18 nga mutuuze we Zzana mu zooni ya Kirimanyaga yatemeza emabega wemitayimbwa oluvanyuma lwa poliisi okumukwatira mu muzigo gwe n’akawala kessomero ngamaze okukasobyako.
Akulira poliisi eno, John Katushabe ategeezezza nti Ssuuna yalimbyelimbye omwana owa ssiniya eyokusatu Zana Mixed SS namutwala namusuza mu nju ye kyokka mu budde bwekiro namusobyako emirundu ebiri nga takozesezza na kapiira .
Ono gwokusobya ku mwana atanneetuuka ku fayiiro nnamba SD/04/02/04/2017 era aggyiddwa ku Poliisi ye Namasuba n’atwalibwa ku kitebe kya poliisi ye Katwe nga n’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.