Amawulire

Okuzzaawo olutindo lwa Katonga kyakutwala sabiiti 3

Okuzzaawo olutindo lwa Katonga kyakutwala sabiiti 3

Ivan Ssenabulya

May 15th, 2023

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Ekitongole ekikola ku nguudo mu gwanga ekya Uganda National Roads Authority (UNRA) kikakasizza ng’omulimu gw’okuzaawo ekitundu ky’oluguudod olwasanyiizbwawo okubooga kw’amazzi ag’omugga Katonga, bwekujja okuba nga kujiddwako engalo mu banga lya Sabiiti 3 zokka.

Mu bubaka obutali bulambulule obulabikidde ku mutimbagano gw’ekitongole kino ogwa twitter, UNRA etegeezeza nga emilimu egitandikirwako egitalinda bwebagitandiseeko edda.

UNRA egamba nti wabula bino byonna byakwesigamizibwa ku mbeera y’obudde nga bwenaaba eyimiridde mu kitundu ekyo.

Wabula bino byonnanga bikolebwa, abagoba b’emotoka bakusigala nga bakozesa oluguudo oluva e Mpigi-Kanoni-Maddu-Ssembabule.

Wabula waliwo abakulembeze abalabudde ng’oluguudo olukozesebwa mu kiseera kino nalwo bwelwandiwunzika nga luwomogosse singa lunakozesebwa ebanga elisoba mu mweezi omulamba.