Amawulire
Omusirikale akkiriza okutta Omuyindi-Bwali Busungu
Bya Ruth Anderah,
Omuserikale wa poliisi agambibwa okukuba amasasi Omuyindi omuwozi wénsimbi ku Lwokutaano lwa ssabiiti ewedde, akoze sitatimenti n’ayatula nti kituufu yatta omuntu mu maaso g’omulamuzi wa kkooti eyókuluguudo Buganda.
Poliisi Constable Wabwire Ivan yakwatiddwa ku Lwomukaaga okuva mu kibuga ky’e Busia mu kugezaako okusala ensalo ayingire Kenya, nga wayise ennaku bbiri oluvanyuma lwokutta Uttam Bhandari abadde Dayirekita wa kampuni ya TFS ekola ku by’ensimbi wali Raja Chambers ku luguudo lwa Palamentary avenue.
Mu kiwandiiko kyataddeko omukono kyeyagalire, Wabwire ategeezezza omulamuzi Siena Owomugisha nti yalwalako ne bamujanjaba nawona wabula tayogedde bulwadde bwali bumuluma.
Wabwire ategeezezza omulamuzi nti bweyagenda ku yaffeesi ya kampuni eno bamuwa sitetimenti za looni bbiri ezikontana nga teziraga bukwakulizo bwa looni gyeyafuna emabegako ne bagezaako okumunyonyola byatategeera kwekuwulira obusungu obwamulema okufuga nakwata ku mmanduso nakuba Omuyindi amasasi.
Oluvannyuma lw’okukola sitatimenti ye Wabwire addizibwayo ku poliisi ya CPS mu Kampala, poliisi egende mu maaso n’okunoonyereza.