Ivan Ssenabulya
Ssenkulu wekitongole kyebyobulamu munsi yonna, ekya World Health Organization nga ye Dr. Tedros Adhanom alaze obwetaavu eri amawanga ga Africa okuteeka ssente mu ntekateeka zokukola vaccine ezaabwe nebikozesebwa ebiralala mubujanjabi.
Kino agambye ni kyekyokuddamu eri emiwaatwa n’obutali bwenkanya ebyetobese mu kubunyisa eddagala erigema ssenyiga omukambvwe.
Bino yabyogeredde mu lukungaana olwa 2021 World Health Summit Regional Meeting ngayita ku mutimbagano.
Yagambye nti nga WHO bakwataganye ne African Union nekitongole kya Africa Center for Diseases Control okutondawo ekitongole ekinakola kubyeddagala mu Africa okumalawo obutali bwenkanya obuzze bweyoleka.
Dr Adhanom era yalaze okutya nti waddenga emiwendo gyabalwade ba COVID-19 abappya gikendedde munsi yonna, wano mu wabaddewo okweyongera kwa 40% mu wiiki emu gyetukubye amabega.
Olukungaana luno olwennaku 4 lwategekeddwa Makerere University eranga lwerusokede ddala mu Africa.
World Health Summit eyasoka, yategekebwa mu gwanga lya Germany mu mwaka gwa 2009.
Mungeri yeemu, Dr. Tedros agamba nti ddala obiutali bwenkanya bukyaliwo mu kubunyisa eddagala erigema ssenyiga omukambwe.
Yagambye nti entekateeka eno, amawanga ga naggwa dda bajitaddemu omukono okujigotaanya, ngagambye nti ssinga eddagala lyabunyisbwa mu bwenkanya mu kiseera kino akawuka ka coronavirus ensi yandibadde yakalainnya dda ku nfeete.
Bino yabyogeredde ku mattikira gettendekero lya Geneva School of Diplomacy mu kusooka.
Yagambye nti wakyabuzeewo nenkwatagana eyanamaddala munsi yonna ku nsonga yokulwanyisa ssenyiga omukambwe.