Skip to content Skip to footer

Museveni ayombedde eddagala

Bya Ivan Ssenabulya

Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni ayambalidde abazungu olwobutali bwenkanya obwetobese mu kubunyisa ddagala

Bwabadde aggulawo olukungaana olwa 2021 World Health Summit Regional Meeting ku Speke Resort e Munyonyo, Museveni mu bukambwe obwekitalo yagambye nti bezza eddagala, okuleka abaddugavu bafe.

Kino yagambye nti ssi kirungi wabula nagamba nti kigenda kuzukusa abaddugavu batandike okukukola ku bizbu byabwe obutali buyambi obuva e bweru.

Yazeemu okweyama nti gavumenti yakuwagira banasayansi ba wano, mu mirimu gyebaliko okuvumbula ebinayamba egwanga.

Agambye nti bagenda kwongera okuteeka ssente mu matendekero aga waggulu, okuwgira byebakola mu buyiiya obwenjawulo, nategeeza nti alina essuubi Uganda eri ku mulamwa mu bujanjabi bwa ssenyiga omukambwe era egwanga ligenda kufuna eddagala eryayo erigema ssenyiga omukambwe.

Leave a comment

0.0/5