Bya Barbra Nalweyiso
Abatuuze abawangaalira okumpi ne’dwaliro ekkulu e Mityana balabye amawano, abantu bwebanawuse nebabasuulira omulambo, mu keesi.
Omugenzi ategeerekese nga ye Kalule Eriyazaali yafiridde ku myaka 70 ngabadde mutuuze we Bufuuma mu Gombolola ye Kalangaalo e Mityana.
Kitegezeddwa nti ono yafudde kirwadde kya ssenyiga omukambwe COVID-19, yafiridde mu ddwaliro lye’Ntebe.
Ekinawuudde ab’oluganda lwe okusuula omulambo gwe mu kkubo tekinnategerekeka.
Omu ku bawala bomugenzi abaddewo, wabula adduse buddusi.
Omwogezi we’dwaliro ekkulu e Mityana, Edward Muganga
avumiride ekikolwa kyabantu bano.
Wabula era amulire agomunda galaze nti omulambo ogwaleteddwa mu keesi ssi mutuufu, ssi ye waabwe.